Enkusu kye kimu ku binyonyi ebisinga okuyiggibwa mu ttale nókukusibwa, naddala ekika ky’Enkusu ekiyitibwa African Grey Parrot.
Enkusu mu lungereza eyitibwa Parrot, nga munsi yonna ,mulimu ebika byénkusu 20, wabula nga ku lukalu lwa Africa kuliko ebika 6, naye ngékisinga okumanyibwa kye kya African Grey parrot.
African grey parrot ebeera yakikuusikuusi ngériko ekyensuti ekya langi emyufu. Wabula zzo enkusu ezisangibwaq ku ssemazinga endala zibeera ne langi nnyingi omuli eza kiragala, emyufu eza bbululu, kyenvu enzirugavu, entobeketobeke néndala.
Wano mu Buganda Enkusu muziro era ng’abagweddira bazukkulu ba Ssenkusu e Ssonja – Buvuma.
Akabbiro kabwe Namuggala, ng’eno ebeera Mpaffu Enkusu gyeba eriddeko netagimalaawo.
Omubala gwabeddira e Nkusu guvuga nti: Kyana ky’enkunsu kirya kyegiringijja kekakitanda n’ekigwa ku ttaka tekidda waggulu.
Enkusu kinnyoyi kisinga kubeera mu miti.
Kiwomerwa nnyo ebidoododoodo, emmere ey’ensigo saako ebibala ebimu n’obuwuka obutonotono.
Ekitongole ekirondoola omuwendo gw’ensolo z’omunsiko ekya IUCN kiraga nti mu nsi yonna ziri wakati wa 40,000 – 100.000
Buli ng’ennaku z’omwezi 31st May, abalondoola obutonde bwensi balukuza nékigendererwa kyókwongera okulondoola ebizikwatako, nókusomesa abantu obukulu bwokuzikuuma zireme kusaanawo.
Kigambibwa nti Olukalu lwa Asia lw’erusinga okwenyigira mu muze gw’okukusa Enkusu nga baziggya mu Africa.
Ebyoya byénkusu ebimyufu aba Asia babikozesa nnyo mu kusinza kwenzikiriza ez’enjawulo.
Era bakkiriza nti olw’okuba enkusu zino ekika kya African Grey Parrot ziyeeyereza bulungi amaloboozi g’abantu, nti era ekyo kigawa amaanyi okuwonya eddwande ez’abantu abatayogera bulungi!
Ng’ogyeko okuba nti Enkusu eky’okuyeeyeereza amaloboozi g’abantu kyesinga okumanyibwako – waliwo ebintu ebirala bingi ebyewunyisa ku Nkusu;-
Enkusu ebeera n’omubeezi omu okutuusa okufa, ate singa afa ekungubaga nnyo.
Enkusu tekoma ku kyakulabika bulungi olwa langi zaayo ez’ekikuusikussi n’emyufu ku kyensuti – neneeyisa yaayo nnungi.
Enkusu kinyonyi ekikolagana obulungi nébinaabyo, era bibeera mu bibinja ebikunukkiriza 1000.
Enkusu esobola okuwangaala okusussa emyaka 65 egyóbukulu.
Enkusu bweweza emyaka 4, ngéfuna omubeezi waayo gwebeera naye lubeerera.
Enkusu enkazi bwezibiika amagi gaazo nga gano gabeera wakati wa 3 – 5, ensajja ekola butaweera okugisombera emmere okutuusa ngámagi gaaluddwa , nga nóbwana buwezezza wakiri emyezi musanvu oba munaana.
Enkusu zisobola okukuumibwa mu maka gábantu, wabula nga zisinga kweyagalira mu bibira.
Enkusu ezikuumibwa awaka singa zibeera zirabiriddwa bulungi, zigwa mu mukwano era nezaagala nnyo abantu abazirabirira, nezeerabirira ddala nkusu zinewaazo.
Shellona Namakula omu kubasomesa ku by’obutonde ku Uganda Wild life Authority oba Zoo e Ntebe, agamba nti okuweweeta Enkusu mu bifo omuli wansi w’ebiwawaatiro byayo , ekyensuti kyayo wekikoma saako n’ekifuba, bigisanyusa nnyo, wabula nga tekisaanye kukolebwa.
Enkusu Kinyonyi kigezi, era kyekimu ku bisinga okujaagaza abantu nebagikuumira mu maka gwabwe saako okuzikukusa.
Wabula olwókwagala okukikuuma n’emijiji egirijja gikirabeko, kisaana kirekebwe mu bibira gyekisinga okweyagalira nókukuuma obutonde bwakyo mwekiwangaalira.
Bisakiddwa: Diana Kibuuka