Enkuba efudembye okwetoloola ebitundu bya Kampala ebiwerako n’emiriraano, egotaanyizza entambula y’emmotoka ekireseewo omugotteko ogw’amaanyi, n’ezimu zikwamidde mu mazzi.
Okusinzira ku nnambika y’ebidduka efurumiziddwa Rogers Nsereko Kawuma addumira police y’ebidduka mu Kampala n’emirirano, eraze nti entambula esinze kugotaana mu bitundu ewali enguudo ezizimbibwa n’ezirimu ebinnya ebingi.
Rogers Nsereko Kawuma ategeezezza nti mu bitundu nga ewayita oluguudo lwa Kampala Flyover naddala ku clock tower, ewa Mukwano, Industrial Area, ku bitaala bya Jinja Road n’ewalala amazzi gasazeeko amakubo agamu olw’ebinnya ebibadde tebinaba kuzibibwa.
Mu mbeera yeemu Alipoota eraze nti enkuba esazeeko ebitundu bya Industrial Area ku 6th ne 7th Street era emottoka ezimu zigudde mu mazzi, ate nga n’omugotteko gw’ebidduka mungi.
Rogers Nsereko Kawuma asabye abagoba b’ebidduka abagenda e Mukono okuyiiya batuuke ku Northern Bypass bewale okuyita ku Jinja Road, nti kubanga amazzi galusazeemu wakati wa Kyambogo ne Kireka.
M kiseera abasirikale ba police y’ebidduka bakola ekisoboka kyona okulambika abagoba b’ebidduka abafuluma e Kibuga naddala ku nguudo okuli Hoima Road, Entebbe Road, Jinja Road, Masaka Road ne Mityana Road okulaba nga bavuga bulungi nga bafuluma.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico