Abakulembeze b’ekibiina ekitaba bannamateeka mu ggwanga ki Uganda Law Society bakukkulumidde kkooti olw’okuyimiriza ttabamiruka w’ekibiina kino abadde ategekeddwa ngennaku z’omwezi 17 December,2024 okulonderako abakiise babannamateeka ku kakiiko akavunanyizibwa ku ssiga eddamuzi ka Judicial service commission.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Musa Ssekaana yayisizza ekiragiro ekiyimiriza ttabamiruka Ono okutuusa ng’omusango ogwawawabirwa abakulembeze bekibiina kino guwuliddwa.
Omulamuzi Musa Ssekaana era yawadde ekiragiro ekisigaza Philip munsabi nga ssabawandiisi wa Uganda law society saako Geoffrey Turyamusiima nga memba wolukiiko olufuzi olwa Uganda Law society, nga bano baali baagobwa President wa Uganda Law society Isaac Ssemakadde nabalala, era nebabasikiza abalala.
Isaac Ssemakadde president wa Uganda Law Society mu kiwandiiko kyafulumiza ekyanukula ku biragiro by’omulamuzi Musa Ssekaana, akukkulumidde Omulamuzi ono naagamba nti ebiragiro bye byoleka nti essiga eddamuzi liri mu buwambe.
Isaac Ssemakadde agambye nti bagenda kuwakanya nessekuwakanya ebiragiro nga bino ebiyisibwa abalamuzi, byagambye nti biyisibwa okulemesa entambuza yabwe ey’emirimu ng’abakulembeze ba Uganda law society.#