Ba kansala mu lukiiko lwa KCCA bakubaganye eⴄⴄuumi n’ensambaggere bwebabadde batudde mu lukiiko ku City Hall, okuteesa ku kasasiro afuuse ensonga mu kibuga ky’eggwanga ekikulu Kampala.
Entabwe wevudde be ba kansala abamu okutandika okulumiriza Lord mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago n’olukiiko lwe okuzannya eby’obufuzi mu nsonga ya Kasasiro mu Kampala, natuuka n’okulwawo okuleeta alipoota ezessimba ezikwata ku mbeera y’ekibuga.
Wabula ekibinja ekirala ekya ba kansala babawakanyizza nga bagamba nti Lord Mayor wa Kampala siyeyagaana oludda lwa KCCA olw’ekikugu okukola omulimu gwayo, ogw’okuyonja ekibuga n’okutegekera kasasiro eyali ayiibwa e Kiteezi eyamuviirako okuyiika n’aziika enju z’abantu, abasoba mu 35 nebalugulamu obulamu.
Ba member ku CEC abaakulemberwamu John Marry Ssebufu baali balina okuleeta Alipoota ku kasasiro mu kibuga wiiki eyise , era nga kino kyawaliriza Sipiika Zahara Luyirika okuyimiriza olutuula lwa Kanso, CEC esooke eleete Alipoota wabula bano olutuula bwelwaddamu tebalabikako ekyabula bakansala.
Mu lutuula olw’enjawulo oluyitiddwa leero nga 17 September,2024 okufuna Alipoota ku mbeera ya Kasasiro mu kibuga, bakansala okubadde Inocent Tegusuulwa , Nusifa Nakato , Sendi Mosh ne Rita Nakubulwa Mubanda batabukidde John Marry Ssebufu nebanne olwokuyisa olugaayu mu Kanso nebalema okwetonda.
Sipiika wa KCCA Zahara Luyirika ategezezza nti ng’abakulembeze tebagenda kutunula butunuzi ng’abantu be Kiteezi nebana Kampala banyigirizibwa olwa kasasiro.
Wano wasabidde abakulu mu CEC okwetonda mu bwangu oluvannyuma lw’okubasomera amateeka agafuga olukiiko lwa KCCA, newatabaawo yetonda, ebigambo ebisongovu okuva mu ba kansala.
Ekiddiridde kweyogerera bisongovu, kuwanika butebe, eⴄⴄuumi n’ensamba ggere nebifuuka baana baliwo, era abamu bayozezza ku mmunye n’engoye abamu zifuuse biziina.
Oluvannyuma embeera ezze mu nteeko n’olukiiko nerukomekkerezebwa, wabula bakansala abamu bagaanye okufuluma City Hall, nga bagamba nti waliwo ba kanyama bebategeddeko nti babateeze ebweru babatuseeko obulabe.
Bisakiddwa: Musisi John