Akulira oludda oluvuganya government mu Parliament Joel Ssenyonyi awandiikidde minister w’ebyentambula n’enguudo Gen Edward Katumba Wamala ng’ayagala enkola empya eyatongozebwa okukwasisa amateeka g’okunguudo eri ab’ebidduka esooke eyimirizibwemu yekenneeyezebwe olw’ebirumira ebigirimu.
Ssenyonyi agambye nti afunye okwemulugunya okuva mu bavuzi b’ebidduka ku nkola eno, nti bangi ku bbo teebasomesebwa nkola yaayo ate nga ebanyigiriza.
Agamba nti wadde waliwo ekkomo ly’endiima eryalambikibwa naye ate waliwo wekitasaana naddala ku mwasanjala wa Northern Bypass ne Expressway!
Agambye nti ku nguudo ezimu ekkomo ku misinde yandireetera abavuzi b’ebidduka obulabe ng’okulumbibwa bakyalakimpadde n’ebiringa ebyo.
Agambye nti n’engassi eweesebwa ab’ebidduka esukkiridde obunene ekigenda okuviirako abasinga obungi okuleka n’okufiirwa emirimu.
Mu ngeri yeemu Ssenyonyi agambye nti waliwo okukontana wakati w’ebitaala ate n’abaserikale b’okunguudo naddala mu biseera ku makya ng’abantu bagenda ku mirimu n’akawungeezi nga bannyuka.