Bazzukulu ba Nsamba ab’e Ngabi ne bazukulu ba Mazige ab’e Mpindi besozze oluzannya olwakamalirizo olw’empaka z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2024.
Engabi Ensamba okutuuka ku fayinolo ekubye Omutima Omusagi goolo 2-1 mu mupiira ogubaddeko n’okuluma obugigi mu kisaawe e Wankulukuku.
Goolo ezitutte Engabi Ensamba ku fayinolo ziteebeddwa muyizzi tasubwa Bruno Bunyaga, ate ey’Omutima Omusagi eteebeddwa Fahim Saka.
Mungeri yeemu e Mpindi okutuuka ku fayinolo ekubye Enkima goolo 1-0 eteebeddwa Ronald Ssembuya.
Fayinolo y’empaka zino egenda kubeerawo ku Saturday nga 08 June,2024 mu kisaawe e Wankulukuku.
Omutaka Nakigoye Samson Nabbimba owe kika kye Kyonyomo, nga yakikirira abataka ku lukiiko oluddukanya empaka z’ebika bya Baganda, asabye ba Jjajja abataka kukunga abazukulu okujjumbira fayinolo y’omwaka guno, okwongera amaanyi mu mpaka.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe