Eng.Daniel Ssebugwawo eziikiddwa e Nkumba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ntebbe, nga 23 December,2024, era nga kwe lunaku lweyazaalibwako nga 23 December,1936.
Eng.Daniel Ssebugwawo yabadde bba wa minister omubeezi owa Technology n’okulungamya eggwanga Owek. Joyce Juliet Nabbosa Ssebugwawo.
Omulabirizi wa West Buganda Kitaffe mu Katonda Henry Katumba Ttamale, yakuleembeddemu okusabira omugenzi, era neyebaza Katonda olwa byonna byamusobozesezza okukola kunsi, naddaka olw’obuwagizi bwawadde ekkanisa.
Obwakabaka bwa Buganda butenderezza omugenzi nti yakola kyamaanyi mu kiseera ekyali eky’akazzigizzigi mu Buganda mu myaka gye 60.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Haji Prof Twaha Kawaase Kigongo agambye nti Omugenzi Daniel Ssebuggwawo alijjukirwa nnyo olwokwagala ennyo Kabaka, n’Okulumirirwa abali mu bwetaavu.
Era amwebazizza olw’ okuwa mukyalawe Owek. Juliet Nabbosa Omukisa Okuweereza mu biti ebyenjawulo ekitali kyangu ensangi zino.
Omukulembeze w’Eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni naye aweerezza obubaka bwatisse minister w’ebyamasannyalaze n’obugagga obw’ensibo Can. Dr Ruth Nankabirwa, n’asaasira Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo olw’okuvibwako Omwagalwa.
Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu n’Omulabirizi we Namirembe Moses Bbanja betabye mu kuziina, nebebazza Owek.Nabbosa ne bba Eng Daniel Ssebuggwawo olw’emirimu egy’ettendo gyebqkoledde ekkanisa, naddala ku Lutikko ye Namirembe.
Okuziika kuno kwetabiddwaako ebikonge mu Bwakabaka omubadde Abaana b’Engoma, ba Nnaalinnya ,ba Katikkiro abaawummula, Ssabaganzi Ssalongo Emmanuel Ssekitooleko, ba minister ba Buganda ne government eyawakati, bannadiini n’abantu abalala bangi.
Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo ategeezezza nti Omugenzi abadde wa mirembe mu Maka, ate nga ayagala nnyo Katondawe.
Minister wa technology n’okulungamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi naye akiggumizza nti omugenzu abadde ayagala abantu abalala n’Okubaagaliza, awatali kwawula mu ddiini oba amawanga.#