Enteekateeka y’okukola enguudo mu district ye Wakiso eyongedde okuwa esuubi, district ettadde omukono ku ndagaano y’okukola oluguudo lwa Kitemu – kisozi ne Naggalabi Spa olumazze ebanga nga abakulu ku district bakaabirira solister general okutereeza empapula lukolebwe.
Ouguudo luno luwezaako kirometer 6.5 nga lwa kuwemeenta obuwumbi bwa shs 41,okuyita mu nteekateeka ya Greater Kampala metropolitan area urban development program.
Lukwasiddwa kampuni ya
China Railways 7th group okulukola mu bbanga lya mwaka gumu kitundu.
Bwabadde akulembeddemu omulimu gw’okuwaayo ku contract eri kampuni Minister omubeezi owa akampala Kabuye Kyofatogabye mububaka bwattise RDC we Wakiso Justine Mbabazi asabye bannauganda mubitundu enguudo zino gyezigenda okukolebwa okubeera bakalondoozi abasookerwako, ssinga wabeerawo enkola eyaggadibe ngalye .
Mbabazi era asabye ba contractor obutanaawuuza bakozi kuva mu bitundu birala wabula omukisa baguwe bannawakiso .
Under Secretary mu ministry ya Kampala Monica Ademacho alabudde abasuubuzi ababadde bagufudde omuze okutundira eby’amaguzi byabwe mubifo abeebigere webalina okutambulira okukikomya bunnambiro.
Agambye nti ebikolwa ebyo bye bimu ebiviriddeko enguudo okufa amangu, era nti anaddamu okukwatibwa wakuvunaanibwa.
Mu ngeri yeemu wiiki bbiri eziyise abakulu ku district ye Wakiso era baateeka omukono ku biwandiiko by’okukola oluguudo lwa Ssentema -Bukasa -Kakiri lutandike okukolebwa.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo