Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okuggulawo empaka zébika bya Baganda ezómupiira ogwébigere n’okubaka ezómwaka guno 2023.
Omupiira guno gwakuzannyibwa mu kisaawe kye Wankulukuku, okuyingira shs omutwalo 10, 000/= ne 20,000/=.
Bazzukulu ba Mugema abeddira Enkima baggulawo ne bazzukulu ba Nsamba abeddira Engabi, mu mipiira gyombi ogwébigere nókubaka.
Empaka zino zigenda kubeera za mulundi gwa 49 okuva lwe zatandika mu 1950.
Emamba Gabunga yekyasinze okuwangula engabo y’omupiira ogw’ebigere emirundi emingi giri 10.#