Ekirime ky’emmwanyi kyongedde okwetikka olukalala lw’ebyamaguzi, Uganda byetunda ku katale kensi yonna, okusinziira ku alipoota ekoleddwa ministry y’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga, ekwaata ku byenfuna by’eggwanga.
Alipoota yesigamye ku byenfuna bwebyatambula omwezi gwa July,2024.
Alipoota eno emanyiddwanga performance of the economy efulumizibwa mu buli mwezi ,ng’ennyonyola ebyenfuna by’eggwanga nga bwebiyimiridde.
Ennyonyola omusolo eggwanga gwerikungaanyiza, ebyamaguzi ebifulumye eggwanga neebyo ebiyingidde eggwanga, ensaasaanya y’ensimbi ezikungaanyiziddwa n’ensimbi ezeewoleddwa government.
Okusinziira ku alipoota eno, Uganda mu mwezi ogwomusanvu yatunda ku katale k’ensi yonna emmwanyi ezaaweza obukadde bwa doola za America 162 okuva ku bukadde bwa doola 127.
Emmwanyi zino Uganda zeyatunda ku katale kensi yonna okusinga zakika jya Rubusta nga zaava mu bendobendo lya Masaka, ne South Western Uganda
Alipoota eno eraze nti emmwaanyi ya Uganda yayongera okwettanirwa ku katale kensi yonna olw’ensonga nti ensi okuli Vietnam ne Indonesia amakungula gaazo gaali matono mu mwezi gwa July.
Italy yeyasinga okwettanira emmwaanyi ya Uganda mu mwezi ogwomusanvu, nga ku mmwaanyi Uganda zeyatunda ebitundu 42%, yazitunda mu Italy endala nezigenda mu mawanga amalala okuli German, Spain, Sudan ,India nendala
Ebibalo ebyafulumizibwa ekitongole Kya Uganda Coffee Development Authority mu mwezi gwa July 2024 Uganda yatunze obukadde bw’ensawo z’emmwanyi 6.13 ku katale kensi yonna, ezibalirirwamu akawumbi ka ddoola za America 1 n’obukadde 144 nga ze trillion 4 n’obuwumbi 236 eza shilling ya Uganda.#