Emmwanyi ya Uganda yeyongedde okweriisa enkuuli ku katale k’ensi yonna, ttiimu za bannauganda ezoolesezza emmwanyi ey’omutindo ziwangudde emiddaali gya zaabu 3 mu mpaka zensi yonna ez’emmwanyi esiikiddwa obulungi.
Empaka ziyindira mu kibuga Paris ekya Bufalansa.
Empaka zino ez’omulundi ogwe 10 zaatuumiddwa the 10th international Competition for Originally Roasted Coffee AVPA Paris 2024.
Ekitongole ky’emmwanyi ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) kyavujirira ttiimu 12 okwetaba mu mpaka zino.
Zino ziwanguliidde Uganda emiddaali gya zaabu 3, ogwa silver gumu, egya Bronze 3 saako egya Gourmet 8.#