Emisango gy’obubbi bw’emmotoka buli olukya gyeyongera, ng’ezimu zibbibwa mu maka g’abantu, mu bifo gyezisuzibwa (parking), ku mikolo n’ewalala.
Police erina emisango gy’obubbi bw’emmotoka 2,656 1,687 zezaazulwa police, 141 ababbi zaabalemerera nebazisuula ku makubo ate endala 827 zaabulira ddala.
Okusinziira ku alipoota ya police ku buzzi bw’emisango ey’omwaka 2022, emmotoka ezisinga obungi zabbibwa mu Kampala n’emiriraano, ekitundu kya Masaka ne district eziriraanyewo nekiddako saako ebitundu bya Savannah omuli Luweero n’emiriraano, Kiira ne Rwizi byebyasinga okubbibwamu mmotoka.
Police ye Katwe abantu gyebaasinga okuwaaba emisango gy’obubbi bw’emmotoka, Kawempe naddako, old Kampala, Kasangati , Kira road, Mukono, Nansana, Nsangi n’awalalala.#