Bazzukulu ba Gabunga abe Mmamba bakiguddeko, bazzukulu ba Nakirembeka ab’Omutima Omusagi babawandudde mu mpaka z’ebika bya Baganda ez’omwaka guno 2025.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, era e Mamba Namakaka omupiira guno eguwangudde goolo 2-1, wabula nga oluzannya olwasooka ku kisaawe kya Kibuli SS Omutima Omusagi gwawangula goolo 1-0.
Omugatte ttiimu zino zisibaganye ku goolo 2-2, olwo webagenze mu peneti, Omutima Omusagi negukuba e Mamba Namakaka goolo 5-4.
Ebye Mamba Namakaka era nga be bakasinga okuwangula engabo eno emirundi emingi 10, byongedde okuba ebibi mu mpaka zino okuva lwe baakoma okuwangula engabo eno mu 2014, nga omulundi guno tebasobodde kutuuka nakumutendera gwa bibinja.
Ebika 16 byokka bye bisigadde mu mpaka zino.
Bazukulu ba Kasujja abeddira e Ngeye bawanduse bwe bakubiddwa e Kkobe goolo 1-0.
Endiga eyiseewo bw’ekubye e Njovu goolo 2-0, bwetyo e Ndiga n’eyitawo ku mugatte gwa goolo 5-2.
Akasimba kakubye e Njobe goolo 3-0, bwekatyo Akasimba ne kayitawo ku mugatte gwa 8-0.
Empindi eyiseewo bw’ekubye e Nvubu goolo 3-0, omugatte Empindi n’eyitawo ku goolo 8-3.
Embogo nayo eyiseewo bw’ekubye e Kinyomo goolo 4-1 eza peneti oluvanyuma lwa ttiimu zombiriri okulemagana goolo 1-1 omugatte.
Enkima ewanduddemu e Nnyonyi Endiisa ku mugatte gwa goolo 5-2, naye nga olwaleero e Nkima ekubye e Nnyonyi Endiisa goolo 3-1, nga n’ogwoluzannya olwasooka yaguwangula goolo 2-1.
Engabi Ennyunga eyiseewo bw’ekubye e Nnyonyi Nnyange goolo 2-0, omugatte e Ngabi Ennyunga n’eyitawo ne goolo era 2-0, nga oluzannya olwasooka ttiimu zombiriri zalemagana 0-0.
Bazukulu ba Nsamba bongedde okulaga eryanyi ery’okweddiza engabo, bwe bawanduddemu e Nvuma ku mugatte gwa 1-0.
Emamba Kakoboza ewandudemu e Nkerebwe ku goolo 2-0 ez’oluzannya olwasooka, nga olwaleero ttiimu zino zigudde maliri ga 0-0.
Obutiko buwandudemu e Nsuma ku goolo 5-4 eza peneti oluvanyuma lwa ttiimu zombiriri okugwa amaliri ga mugatte goolo 1-1.
Enjaza nayo eyiseewo bwewandudemu Ngaali ku peneti 4-3 oluvanyuma olwokulemagana goolo 3-3 omugatte.
Ensenene eyiseewo bw’ekubye e Mbwa goolo 1-0, bwetyo Ensenene n’eyitawo ku mugatte gwa 2-0, wabula nga omuzannyi we Nsenene Robert Ssewanyana afunye kaadi emyufu n’omuzannyi we
Mbwa Magezi Mahad afunye kaadi emyufu.
Abalangira nabo bayiseewo bwe bakubye e Nte goolo 1-0, bwe batyo Abalangira ne bayitawo ku mugatte gwa 2-1.
Olugave luyiseewo bwe bakubye Omutima Omuyanja goolo 3-1, nga omupiira ogwasooka ttiimu zino zaagwa maliri ga 0-0.
Bazukulu ba Mutesasira ebe Ngo bayiseewo bwe bakubye e Ngoonge goolo 5-4 eza peneti oluvanyuma olwokulemagana goolo 1-1 omugatte.
Enteekateeka eddako yeyokukwata obululu obw’ebibinja ku mutendera gwa ttiimu 16.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe