Emizannyo gy’amatendekero gábasawo agali mu Wakiso Sub-Region omugwa district eyé Wakiso, Mpigi, Nakaseke ne Luweero gigguddwawo leero nga 21 August,2024 ku ttendekero lyábasawo erya International Paramedical Institute e Maya-Wakiso.
Empaka zino zaakukulungula ennaku 3 ngábayizi bavuganya mu mizannyo egyénjawulo, omuli emisinde, okubaka, omupiira ogw’ebigere, volleyball, handball, okukasuka ennyago, okusitula akazito, okwo saako emizannyo egyómunda omuli omweso, chess, draft némirala.
Amatendekero gábasawo agasoba mu 8 gegeetabye mu mpaka zino, okuli kabakyaza International Paramedical Institute, Wakiso Comprehensive School of Health Sciences, Bugema University, Mildmay Institute, Kampala School of Health Sciences, Kampala Institute of Science and Technology, Ssami Institute of Health Sciences ne Access Institute of Health Sciences.
Ssentebe wákakiiko akateesiteesi kémpaka zino Kiwu Joseph akubirizza abayizi abazeetabyeemu okukuuma empisa eza bannabyamizannyo.
Director wa International Paramedical Institute Dr.Grace Steven Sseruyange agambye nti ettendekero lino liteeseteese bulungi ebisaawe byonna mu mizannyo egyénjawulo.
Annyonyodde nti eby’emizannyo kye kimu ku bitumbula eby’obulamu, nga n’olwekyo mu nteekateeka yaalyo ey’okusomesa abasawo, n’eby’ebyemizannyo byassibwako essira.#