Police ezikiriza omuliro erangiridde nti sirinda za gas n’emisubbaawa ezikozesebwa mu maka ga bantu agenjawulo zikoze kinene mu kubalukawo kw’omuliro oguzze gusanyawo ebintu mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo.
AIGP Stephen Tanui ,nga yakulira police ezzikiriza omuliro agambye nti emisango 1,280 gyebaafuna omwaka oguwedde 2024, okunoonyereza kwabwe kulaga nti emisango 217 giraga nti omuliro gwava ku bulagajjavu mu bantu naddala abakozesa sirinda za gas nemisubbaawa saako ettaala za munakutadooba mu Maka oluusi nemu business.
Tanui asinzidde mulukuηaana lwa bannamawulire ku Kitebe Kya police e Naguru, nategeza nti omuliro gusobola okwewalika singa abantu bavaamu obulajjagyavu .
Mungeri yemu asabye abakozesa enguudo okukkiriza ng’emmotoka ezizikiriza omuliro okubayitako zisobole okutuuka awaba wagudde akabi mubudde.