Ministry yebyentambula n’enguudo esazeewo okuddamu okwetegereza abakozi bonna abaali bakolera mu bitongole okuli Uganda road fund ne UNRA, government byeyagyawo ku nkomerero y’omwaka oguwedde 2024
Ministry eno egenda kulanga emirimu gino abakozi bagisabe buto..
Babra Namugambe, Undersecretary mu ministry y’ebyentambula abadde mu kakiiko ka parliament akalondoola ebisuubizo bya government naagamba nti olunaku olw’enkya nga 14 February,2025 ministry lw’e,genda okulanga emirimu egiwera 1905, abaali abakozi b’ebitongole okuli UNRA ne Uganda Road Fund baddemu baseemu okusaba.
Babra Namugambe agambye nti bakusunsulwa abalina ebisaanyizo baddemu baweebwe emirimu.
Akakiiko ka parliament akalondoola ebisuubizo bya government akakulemberwa Dr. Abed Bwanika omubaka wa Kumanya Kabonera ne Joyce Bagala omubaka omukyala owa district ye Mityana,kaayise abakulu mu ministry y’ebyentambula okutangaaza ku bisuubizo bya government byezze ekola ku nguudo, entiulindo, ebidyeri n’ebirala
Minister omubeezi ow’ebyentambula Fred Byamukama azeemu okukinoogaanya nti government tegenda kukola nguudo mu kitundu kyonna, nga tekirina kyekivaamu ekigatta ku byenfuna byeggwanga, enguudo zegenda okusaako essira n’ensimbi zeezo ezirina kyeziteeka mu ggwanika ly’eggwanga mu ngeri yebyenfuna.
Ababaka bawakanya enteekateeka eno, era ssentebbe w’akakiiko Kano Dr Abed Bwanika wamu nomumyuuka we Joyce Bagala balagidde minister Fred Byamukama akole alipoota eraga enguudo government zezze ekola, nebyezigatta ku ggwanika ly’eggwanga agitwale eri akakiiko kano kagyekeneenye.#