Entiisa ebuutikidde abatuuze abawangalira ku byalo okuli Bamusuuta ne Kakira omu town council ye Katuugo mu district ye Nakasongola, babasuulidde emirambo ebiri mu kitundu.
Mayor wa Katuugo town Council Lubinga Fred agambye nti emirambo gino kuliko ogw’omukazi n’omusajja, nga girabika jagyiddwa mu bitundu ebirala negisuulibwa mu kitundu kyabwe emmotoka nezigirinnyalinnya.
Lubinga agambye nti omukyala takyasobola kutegeerekeka olw’embeera gyalabikamu, kyokka ye omusajja asobola okutegetekeka eri abo abamumanyi.
Lubinga fred Lubinga mayor katuugo town council
Police ye Nakasongola egigyewo negitwala mub ggwanika ly’eddwaliro lye Nakasongola.#