Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga katandise okusunsula abantu abagala okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Oyam North mu district ye Oyam,ekyalimu eyali minister omubeezi ow’abakozu Rtd Col Charles Engola.
Minister Engola omukuumi we Wilson Sabiiti yamukuba amasasi mu maka ge e Kyanja n’afiirawo mu May 2023.
Abantu 6 bebaakavaayo nebalaga obwetaavu bw’okwesimbawo ku kifo kino era bebagenda okusunsulibwa akakiiko k’ebyokulond.
Abagala okwesimbawo kuliko Engola Okello Samuel mutabani w’omugenzi asimbiddwawo ekibiina ki NRM, Okello Daniel ow’ekibiina ki National Unity platform saako Omodo Willy Kagere atalina kibiina.
Abalala kuliko Apio Otuko Eunice owa UPC, Amolo Queen Dorothy atalina kibiina saako Okello Freddy Newton owa FDC.
Paul Bukenya omwogezi wakakiiko kebyokulonda agambye nti okusunsula kukoleddwa ku kitebe kya district ye Oyam era kwakumala ennaku bbiri.
Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa akakiiko k’ebyokulonda aka Electoral Commission of Uganda, abanaasunsulwamu balina ennaku 13 okunoonya akalulu, okuva ng’ennaku zomwezi 22 June okutuuka 4 Juky 2023.
Okulonda kwakubaawo nga 06 July#