Akakiiko keby`okulonda mu ggwanga akaUganda Electoral Commission of Uganda, kakasizza nti akalulu Ke Kawempe North kagenda kubeera k’amazima nabwenkanya, nti era byonna ebibadde tebitambula bulungi bigoonjoddwa.
Ssentebbe w’akakiiko kano Omulamuzi Simon Mugyenyi Byabakama, oluvanyuma lwensisinkano gyebabaddemu n’abekibiina kya NUP ababadde baleese okwemulugunya kwabwe, kwebyo ebitagenda bulungi mu kunoonya akalulu mu Kawempe North, ayogeddeko ne bannamawulire n’ategeeza nti ng’akakiiko gyekalina okuola kabikoze, ebirumira ebisigaddewo bya bitongole byakwerinda.
Ana NUP babadde batutteyo okwemulugunya kwabwe, nga bagala akakiiko kagambeko ku bitongole by`ebyokwerinda ebibatulugunya n`okuwamba abantu babwe wakati nga banoonya akalulu.
Byabakama abategeezezza nti baatudde ne police era nabajiragira ekome kubasajja baayo, era kisigalidde eri bitongole byakwerinda okukola ebyakkaanyiziddwako eby’okukoma okutulugunya abantu abawenja akalulu.
Kunsonga y`Obukonge bw`obululu obuleetebwa nga bwagoloddwa dda, Byabakama agambye nti kuluno akakiiko keby`okulonda kataddewo basajja baako abagenda okukwata abo bonna abakozesa eryanyi nebabba obukonge buno mu bifo ebironderwamu.
Simon Mugyenyi Byabakama era ayanukudde nekunsonga y’ekifo ekironderwamu ekya UCTU , aba NUP kyebagamba nti Kiri wakati mu Barack’s yebitongole byeby`okwerinda, Kunsonga eno agambye nti bagenda kusindikayo team balabe oba eky`ogerwako kituufu.
NUP era yemulugunyiza Kunsonga y`omuwendo gwabalonzi abalondera e Kawempe, NUP gwebamba nti gwalinye nebitundu 21%, nebava Ku balonzi emitwalo 164,000 abaali ku alijesita y’abalonzi mu kalulu ka 2021 okudda ku balonzi 199,000.
Wano Byabakama mu kubanukula abagambye nti omuwendo guno okulinya kyavudde Ku muwendo gwabantu abangi mu Kitundu kino abajumbidde okwewandiisa mu kuzza obuggya enkalala okwabaddewo.
Abavudde mu NUP babadde bakulembeddwamu Ssabawandisi wekibiina kino David Lewis Lubongoya, Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola, Betty Nambooze Bakireke n’abalala.
Erias Luyimbazi Nalukoola eyesiimbyewo ku kaadi ya NUP mu kalulu k’okuddamu okulonda omubaka wa Kawempe North, agambye nti kagwake oba ketonye, tebagenda kuyimiriza kawefube wabwe ow`okuwenja akalulu mu bannaKawempe North, wadde nga basaanze okutulugunyizibwa okuva ku lunaku lwennyini lwebewandiisa.
Kakuyege w’okunoonya akalulu k’okuddamu okulonda omubaka wa Kawempe North kukomekkerezebwa nga 11 March, ate okulonda kwakubaawo nga 13 March,2025.
Bisakiddwa: Musisi John