Akakiiko kebyokulonda aka Uganda electoral commission kafulumizza enteekateeka enaagobererwa,okujjuza ekifo kyomubaka wa parliament oowekitundu kye Omoro ,ekyabaddemu Jacob Oulanyah eyaziikiddwa olunaku olweggulo.
Etteeka erifuga okulonda kw’ababaka ba parliament liragira akakiiko kebyokulonda ennaku 60, okuba nga kamaze okujjuza ekifo kyonna ekiba kisigadde nga kikalu.
Jacob Oulanyah yaffa ng’ennaku zomwezi 20 omwezi ogwokusatu omwaka guno 2022.
Okulonda okujjuza ekifo kino kwakubaawo nga 26 may,2022.
Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa Ssentebe wa electoral Commission omulamuzi Simon Byabakama Mugenyi, okuzza obuggya enkalala z’abalonzi mu kitundu ekyo ekya Omoro ,kwakubaawo okuva nga 14 -19 April, nga kino kyakukolebwa mu miruka 37 egikola constituency ye Omoro .
Akakiiko era kataddeo nsalesale wa nga 19 April.2022 okuwandiisa abalonzi abaggya ,naabo abagala okukyusa ebifo byebalonderamu.
Okutimba n’okwekeneenya enkalala z’abalonzi kwa nga 25 April okutuuka nga 5 may, mu bifo 84 ebironderwamu mu constituency ye Omoro
Okuwandiisa abagala okwesimbawo ku kifo ekyo kwa nga 12 ne 13 may,
Okunoonya akalulu kubeewo okuva ngennaku zomwezi 16- 24 may.
Okulonda kwakubaawo ngennaku zomwezi 26 may 2022.
Electoral Commission era kalangiridde nti kakuddamu okulondesa okujjuza ekifo Kya councilor omukyala akiikirira eggombolola ya Lalogi/ Lakwaya ku lukiiko lwa district ye Omoro nakyo kyasigala nga kikalu.