Omuliro ogutanategerekeka kweguvudde gusanyizzawo ebintu by’abayizi be ssomero Pallisa girls primary school,lisangibwa mu town council ye Pallisa.
Omuliro guno gutandise ku saawa bbiri n’ekitundu ezekiro ky’olwokubiri, gusanyizaawo ebintu by’abayizi okuli engoye, ebitabo, amasanduuku, ebitanda, nekalonda omulala gwebabadde bakozesa.
RDC we Paliisa Magid Dhikusoka eranga yavunanyizibwa ku butebenkevu mu district eno,agambye nti wadde police eyambye okuguzikiza, ebintu by’abayizi bingi bisanyeewo.
Abakulira essomero tebanabaako kyeboogera ku muliro guno.
RDC Dhikusoka alagidde police enoonyereze ekiviiriddeko omuliro guno, nagamba nti guno mulundi gwakubiri mu myezi etaano gyokka, ng’essomero lino likwata omuliro.
Tewali muyizi atusiddwako bisago, bonna babadde mukusoma okwakawungeezi okumanyiddwa nga ‘preps’