President Museveni era azeemu okukikaatiriza nti eby’okuddamu okwesimbaawo ku bwa president mu 2026, nti tebirina kulumya banna Uganda mitwe nti kubanga ezo nsonga ntono nnyo ezisobola okukubaganyizibwako ebirowoozo nebasalawo ekirina okukolebwa.
Okwogera ku nsonga y’okuddamu okwesimbawo oba okuwummula, President Museven yabadde ayanukula ekibuuzo ku kya Uganda okuba nti ekyalemeddwa okuyita ekigezo ky’okukyuusa obuyinza mu mirembe.
Museveni asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire olubadde mu maka go bwa President Entebbe, n’agamba nti ekiseera eky’okulowooza n’okwogera ku by’okwesimbawo oba okuwummula tebinatuuka, nga waliwo ensonga ez’amaanyi ezirina okussibwako omulaka naddala ezisitula ebyenfuna.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni era alangiridde nga bwagenda okulagira amagye gonna gave mu nkaayana z’ettaka nti kubanga banamagye balina kukuuma ggwanga so ssi kudda mu nsonga za ttaka.
Ensonga z’obuvuyo bw’ettaka zezimu bannamawulire zebasinze okumubuuza, ku bigambibwa nti bannamagye bakozeseddwa nnyo okutigomya n’okusengula abantu ku ttaka.
Museveni era asabye bannamawulire awamu n’abebyokwerinda abamu bazuule ekituufu ekyasibya omuwala ayitibwa Olivia Kwagala, nga kino kivudde ku munnamawulire omu okumutegeeza nti ono omuwala avunaanibwa mu kooti y’a Magye ate nga kigambibwa nti yasibibwa lwa byabufuzi.
Museven era alagidde abantu abagamba nti abantu babwe bazze babuzibwawo nti bagende ku police baloopeyo ensonga zabwe, ate bakuume n’obujulizi bwabwe nti ddala baaloopa.
President Museveni era asuubizza bannauganda nti tebasaanye kweraliikirira olw’akazito akateereddwa ku ggwanga, olw’etteeka eryakolebwa okulwanyisa omukwano ogwe kikula ekimu.
President Museveni yayogedde ku nsonga nyingi omubadde enguudo embi, Uganda okukyaaza emipiira gya semazinga wa africa nensonga endala nyingi.#