Abantu 2 okuli omuyizi w’essomero bebafiriddewo ate omuntu omu nasimattuka, ekirombe mwebabadde basima omusenyu kibagwiridde.
Ekirombe kino kisangibwa Karandagasi mu muluka gwe Kitojo mu ggombolola ye Bubaare mu district ye Rubanda
Elly Maate omwogezi wa Police mu bendo bendo lye Kigezi etwala police ye Rubanda agamba nti abafudde kuliko Byebyoma John Bosco ow’emyaka 46 ne Mutabani we Magara Andrew ow’emyaka 16 omuyizi abadde asoma S2 ku ssomero lya Creamland High School erisangibwa mu munisipaali ye Kabale.
Ate omulala eyakazibwako erya Boy yeyasimattuse natwalibwa mu ddwaliro lya Kabale Referral Hospital.
Maate ategezeza nti bano bwebabadde bagenze mu kirombe kino enkuba gyeyabasanze, nebasalawo okweggama mu mpuku y’ekirombe kino nga bakumye omuliro okusobola okufuna akabugumu, kyoka enkuba yeyongedde ettaka neritendewalirwa neribaziika.
Maate alabudde abantu abali mu birombe okubeera abagendereza ennyo naddala mu kaseera kano ak’enkuba etonnnya
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico