Abavubuka abeeyitanga aba Red Top Brigade beyubudde nebatongoza ekisinde ekiggya kyebatuumye Revolutionary People’s Party (RPP)
Abavubuka bano bajjukirwa nnyo mu biseera by’akalulu ka 2016 nga kabindabinda, beesibiranga enjegere ku miti mu Kampala, nga balaga obutali butativu olwa government okuba nti yali eremereddwa okutuukiriza obuweereza obusaanidde ku bannauganda, naddala abavubuka.
Ekisinde kya Red Top Brigade kyatandika mu 2013 wabula oluvannyuma lw’akalulu ka 2016, kyawulirwayo endooliita ezaali ziva ku bukulembeze bwakyo, wabula nga n’emirandira gyakyo gyali teginasiimba mu bantu.
Oluvannyuma lw’okweyubula nebatandikawo ekisinde ky’eby’obufuzi ki Revolutionaly People’s Party ekikulirwa Charles Mutaasa Kafeero, bateekateeka kutandika kusimbawo bantu mu bifo by’obukulembeze obwenjawulo.
Charles Mutaasa Kafeero asinzidde ku Speke Hotel mu Kampala bw’abadde ayogerako ne bannamawulire, n’agamba nti bagenda kusooka kwegezaamu mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa parliament owa Kawempe North, okugenda okubaawo nga 13 March,2025.
Agambye nti ebinaava mu kalulu kano byakwongera okubayamba okunnyikiza enteekateeka zabwe mu kalulu ka bonna aka 2026.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif