9Omulamuzi w’eddaala erisooka atuula e Mpigi Ekemu Ezra Solomon azeemu okusindika ku alimanda mu kkomera e Kigo munnansi wa Israel Raed Wated ku misango gy’okutta mukazi we egimuvunaanibwa.
Raed Wated enzaalwa ye Isreal asindikiddwa mu kkomera eKigo okutuuka nga 15 August.m 2023 ku musango gw’obutemu.
Kigambibwa nti nga 13 July,2023 ku kyalo Kalagala Kikutuzi mu town ye Kayabwe, Wated yatta Nabukenya Monica eyali mukazi we omulambo naagusuula mu kinnya kya kazambi.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joy Apolot lukaanyizza ne bannamateeka bomuwawabirwa abakulembeddwamu Isaac Ayebazibwe nga okunonyereza bwekutanaggwa, omulamuzi n’asalawo omusango okugwongerayo.
Kigambibwa mti Wated yatta mukaziwe munnauganda oluvannyuma lw’okukebeza abaana bebaalina n’azuula nga ssi ye kitaabwe.
Bisakiddwa: Yoweri Musisi