Ng’akakiiko k’ebyokulonda aka Uganda electoral Commission kaafulumizza enteekateeka y’okulonda kw’abakulembeze mu 2026, abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu, bagamba nti kye kiseera ne government okutandika okuwa police ensimbi okweteekerateekera akalulu ako.
Bagamba nti ebikolwa bingi ebirinnyirira eddembe ly’obuntu ebizze birabikira mu kulonda okuyise, nga birimu n’okuyiwa omusaayi.
Ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu district ye Wakiso Elly Kasirye mukwogerako ne CBS FM Emmanduso agamba nti singa police teweebwa nsimbi zimala, eggwanga lyolekedde okufuna obutabanguko mu kulonda okujja.
Elly Kasirye mu ngeri yeemu ayambalidde abakulembeze abamu abefunyiridde okulemesanga buli nteekateeka za government wamu n’obuweereza obuletebwa ebitongole byanakyewa okuyambako abatuuze, nti nga basooka kubasaba nsimbi okubaako kyebakola mu bitundu byabwe.
Hadija Nansubuga omulwanirizi w’eddembe ly’ obuntu mu kitongole kya Paradigm for social Justice and Development PSD agamba nti ekyewunyisa nti eggwanga lituuse mukaseera akazibu nga buli muntu okubaako kyakola asooka kubuuza ye wafunira ng’omuntu okwekkusa.
Wabula mu mbeera eno, abamu kubakulembeze okubadde Mathias Birungi Ssemujju amyuka ssentebe w’eggombolola ye Mende agamba nti ng’abakulembeze nabbo basanga akaseera akazibu nga bamaze okulondebwa, olw’abalonzi okubasaba ensimbi ekiyitiridde nga babajuliza nga bwebaabaalonda, olwo obuvunanyizibwa bwonna nebabutikka bakulembeze.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo