Omukulembeze we ggwanga Yoweri Kagutta Museveni asuubizza okusisinkana ababaka ba parliament n’abamu ku bakulembeze ku mitendera egyenjawulo abobukiika Kkono bwa Uganda, okusala amagezi ku nsonga ezikyalemesezza abantu b’omubitundu bino abaafirizibwa ebyabwe, mu biseera byentalo olw’okulwawo okuliyirirwa.
Pulesidenti Museveni bino abyogedde aggulawo olutuula lwa parliament olwategekeddwa e Gulu , ababaka abava mubitundu byobukiika Kkono gyebakamutemedde nti abantu bomubitundu bino abaafiirwa ebyabwe mubiseera byentalo zekiyeekera, nokutuusa kati bakyali mukubonabona olwa government okulemererwa okubaliyirira.
Museveni atuuse n’okuyita Amyuka Ssaabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi, okuttaanya ku nsonga eno, n’amutegeeza nti ekireetedde entekateeka eno okutambula akasoobo, gwe muwendo gw’abantu abalina okuliyirirwa ogweyongera buli olukya.
Ababaka mu kitundu ekyo baliko n’ebisuubizo ebirala bingi byebaanjudde, nga bagamba nti government ezze ebisuubiza netabituukiriza.
Wabula bino byonna Omukulembeze we ggwanga abitunuulizza ensisinkano gyebagendamu n’abakulembeze ba bantu bano, basalewo eky’enkomeredde.
Mwami Museveni era awadde bannayuganda amagezi okukozesa obulungi obugazi bwettaka lyebalina, nga balikorerako ebintu ebibawa ensimbi eziwera.
Parliament yasalawo okutuuza enkiiko zaayo mu bitundu by’eggwanga ery’enjawulk n’ekigendererwa eky’okutwala parliament mu bantu, okuwuliriza ebizibu by’ebitundu ebyo, n’okulabira ddala embeera y’ebitundu.
Batandikidde Ggulu.
Bisakiddwa: Edithie Nabagereka