• Latest
  • Trending
  • All
Ebintu byaffe eby’obuwangwa tebirina kuyitibwa bya sitaani – bishop Silvester Kisitu mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka age 71 ku eklesia e Namungoona

Ebintu byaffe eby’obuwangwa tebirina kuyitibwa bya sitaani – bishop Silvester Kisitu mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka age 71 ku eklesia e Namungoona

April 14, 2026
Parliament ekkiriza ababaka ba NRM okubaga ebbago ly’etteeka erifuga Parliament – okukyusa ennonda y’akulira oludda oluvuganya government

Parliament ekkiriza ababaka ba NRM okubaga ebbago ly’etteeka erifuga Parliament – okukyusa ennonda y’akulira oludda oluvuganya government

July 8, 2026
Parliament ekkiriza ababaka ba NRM okubaga ebbago ly’etteeka erifuga Parliament – okukyusa ennonda y’akulira oludda oluvuganya government

KCCA FC ekaansizza omuwuwuttanyi Yunus Sibira – okuva mu Kitara FC

July 8, 2026
Police ekakasizza abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu

Police ekakasizza abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu

July 8, 2026
President Museveni aweerezza ba minister be okukiika embuga – okutema empenda ez’okukolera awamu ne Buganda mu by’enkulaakulana

President Museveni aweerezza ba minister be okukiika embuga – okutema empenda ez’okukolera awamu ne Buganda mu by’enkulaakulana

July 8, 2026
Obukadde bwa shs 139 bwebuleeteddwa mu nkola ya Luwalo lwange – lwerusoose mu mwaka gw’ebyensimbi 2026/2027

Obukadde bwa shs 139 bwebuleeteddwa mu nkola ya Luwalo lwange – lwerusoose mu mwaka gw’ebyensimbi 2026/2027

July 7, 2026
Essiga eddamuzi lyagala bannamateeka bakulemberemu kaweefube w’okugonjoola emisango gy’amaka nga bayita mu kutabagana – mu kifo ky’okujitwala mu kooti

Essiga eddamuzi lyagala bannamateeka bakulemberemu kaweefube w’okugonjoola emisango gy’amaka nga bayita mu kutabagana – mu kifo ky’okujitwala mu kooti

July 7, 2026
Okutongoza Kaliisoliiso Dinner Concert ku Nkozi Hospital – 09 July,2026

Okutongoza Kaliisoliiso Dinner Concert ku Nkozi Hospital – 09 July,2026

July 7, 2026
Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 33 ku Watoto Church e Bweyogerere – 31 July,2026

Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 33 ku Watoto Church e Bweyogerere – 31 July,2026

July 7, 2026
Auto Draft

Obwakabaka bwa Buganda buyisizza embalirira y’omwaka 2026 – ya buwumbi 409

July 6, 2026
Ababaka ba NRM balonze Stella Kiryowa ne Fred Bangumya – okujjuza ebifo bya Uganda mu EALA

Ababaka ba NRM balonze Stella Kiryowa ne Fred Bangumya – okujjuza ebifo bya Uganda mu EALA

July 5, 2026
Buddu erumbye Buweekula e Mubende negikubirayo – mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026

Buddu erumbye Buweekula e Mubende negikubirayo – mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026

July 5, 2026
Bannauganda 273 bebasoose okuzzibwa okuva e SouthAfrica – nga betegula bannansi baayo abagobye abagwira

Bannauganda 273 bebasoose okuzzibwa okuva e SouthAfrica – nga betegula bannansi baayo abagobye abagwira

July 3, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Nature

Ebintu byaffe eby’obuwangwa tebirina kuyitibwa bya sitaani – bishop Silvester Kisitu mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka age 71 ku eklesia e Namungoona

by Namubiru Juliet
April 14, 2026
in Nature
0 0
0
Ebintu byaffe eby’obuwangwa tebirina kuyitibwa bya sitaani – bishop Silvester Kisitu mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka age 71 ku eklesia e Namungoona
0
SHARES
28
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bishop Silvester Kisitu owa Orthodox Church atwala ekitundu ky’e Jinja, asoomozezza abantu ba Uganda okwettanira okukozesa ebintu byaffe eby’obuwangwa mu bulamu obwa bulijjo, bireme okutwalibwa ng’ebya sitaani.

Bishop Kisitu yakulembeddemu okubuulira ku mukolo gw’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 71, agakwatiddwa ku eklesia ya St.Nicholas e Namungoona.

Agambye nti abantu balina okukomya okwerimbika mu ddiini, nebavvoola obuwangwa.

“Abantu balina okuba n’obuwangwa bwabwe era ne Mukama abuwa ekitiibwa”

Awadde eky’okulabirako eky’abantu abakowooza nti embugo za sitaani nagamba nti sikituufu, abazikozesa ebitali bituufu brbakyamu.

“Engoye zaffe zino zetwambadde oba ziyite egganduula, olwaleero enkoba zetwambadde twazikoze mu mbugo zaffe. Naffe ng’Eklesia ye ssaawa tulage nti ebintu byaffe eby’obuwangwa tulina okubiweesa ekitiibwa” – bishop Silvester Kisitu

Agambye nti Embugo zaffe tezirina kukolwamu bya mikono byokka, oba mu mikolo gya Buganda gyokka, tusobola okuzikozesa mu buli kimu kyetukozesa mu bulamu obwa bulijjo”.

Ebimu ku bikwata ku Lubugo

Olubugo lwe lugoye olusobolwa okwambalwa buli muntu ekiseera kyonna nga bw’abeera ayagadde.

Olubugo luva ku muti Omutuba, era Okukumaga embugo kuwadde abantu bangi emirimu mwebafuna ensimbi nebekulaakulanya.

Abantu abasiinga obungi, basiinga kulumanyira kukuba nti luziikibwamu bafu, era nga teruyitamu mazzi.

Obugumu bw’olubugo era nga luwangaala myaka na myaka, okuba nga teruyitamu mazzi, wadde empewo kwekwava okuluziikamu abafu.

Wano waliwo n’olugero olugamba nti

“Atamanyi mpewo y’emagombe yamma omufu olubugo”

N’abantu abali ku mawanga nabo bongedde okwettanira enkola eno, nga negyebuvuddeko mu kibuga Manchester ekya Bungereza, omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo yatongoza enkola y’okuziika bannauganda abafiiridde ku mawanga mu mbugo.

Enteekateeka eno yakulemberwamu aba Greater Manchester Funeral Services Ltd.

Abaganda n’abakonzo batwala olubugo okubeera olugoye olw’obuwangwa.

Bannabitone abeegattira mu kibiina ki ‘Sanyuka Films Uganda’ mu 2025 baatongoza olutambi lwa firimu lwebaatuuma ‘Kimote’ olulambulula byonna ebikwata ku Lubugo.

Abantu bangi bettanidde okwongera omutindo ku lubugo nga bakolamu ebintu eby’omuwendo n’ebyambalo, omuli

Enkoofiira

Engatto

Engoye

Ekkooti

Ensawo

Bbulangiti

Emisono gya bannalulungi N’ebirala.

Omulangira David Kintu Wasajja ng’ayambadde akakooti akakoleddwa mu lubugo
Laba akasawo akakoleddwa mu lubugo

Ebyafaayo ku Lubugo

Abawandiisi bebyafaayo.abamu bagamba nti Omutaka w’essiga lya Ssenkungu mu kika kye Ngonge Wamala Buyungo Kaboggoza  yeyasooka okuzuula nti Olubugo lusobolera ddala okukolebwamu ekyambalo,ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera eyakulembera Obuganda wakati wa 1275 okutuuka1330.

Wabula ate waliwo nabagamba nti lwavumbulwa Ssekabaka Ssuuna bweyali tanafuuka Kabaka, nga yaluηamizibwa mwoyo nazuula nti omulimu gw’okukomaga n’okuggyako olubugo olw’okwambala.

Omuti omutuba okwava olubugo olwasooka gugambibwa okuba nga gwali mu kibira Kyoga  mu ssaza Mawokota.

Olubugo lwafuuka ekyambalo ky’abaganda eky’obuwangwa era nekyettanirwa nnyo abantu bonna, okutuusa abazungu n’abawalabu lwebaaleeta engoye ezikolebwa mu Ppamba ne silk akolebwa obusaanyi.

Okusinziira ku minister w’ebyobuwangwa n’ennono,embiri n’okutumbula Oluganda Owek.Anthony Wamala Olubugo lwongedde okwettanirwa ensangi zino, olwa technology ow’omulembe ayambye okulwongerako omutindo okukolamu ebintu ebyettanirwa abavubuka.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Parliament ekkiriza ababaka ba NRM okubaga ebbago ly’etteeka erifuga Parliament – okukyusa ennonda y’akulira oludda oluvuganya government
  • KCCA FC ekaansizza omuwuwuttanyi Yunus Sibira – okuva mu Kitara FC
  • Police ekakasizza abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu
  • President Museveni aweerezza ba minister be okukiika embuga – okutema empenda ez’okukolera awamu ne Buganda mu by’enkulaakulana
  • Obukadde bwa shs 139 bwebuleeteddwa mu nkola ya Luwalo lwange – lwerusoose mu mwaka gw’ebyensimbi 2026/2027

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist