Ebbanja eribanjibwa ekkanisa ya Uganda ku kizimbe kya Church House likendedde okuva ku buwumbi 60 n’omusobyo ebuzaayo obuwumbi 16 bwokka.
Ekizimbe kino kisangibwa ku Kampala road okuliraana Mapeera house, kumpi ne Constitutional square.
Eddimu ly’okusonda ensimbi zino lyatandikibwa Ssabalabirizi Kazimba Mugalu omwaka oguwedde 2021.
Etterekero ly’eddagala ery’obwanakyewa erya Joint Medical Stores liwaddeyo obukadde bwa shs 25 ku mulimu gwa Church house, n’obukadde obulala 10 ku nteekateeka z’okukuza olunaku lw’abajulizi e Namugongo.
Ssaabalabirizi agambye nti basuubira okufunayo omutemwa gw’ensimbi okuva mu balamazi, okukwasizaako ku mulimu gw’okukendeeza ebbanja lya church house.
Abadde ku kkolero ly’omukka gw’obulamu abantu gwebassa (oxgyen) erizimbiddwa ab’ekitongole ekitereka n’okutambuza eddagala mu ggwanga ekya Joint Medical Stores e Nsambya.
Akulira Joint Medical Stores Dr. Bildard Baguma agambye nti ekkolero ly’omukka lino, likyakolebwako nongoosereza zokka era lisuubira okutandika okukola mu mwezi ogujja ogwa July 2022.