Ekitebe ky’omukago gwa East Africa ki East African Community kirangiridde nti eggye ly’omukago lyakezza ebitundu 11 mu bendobendo ly’obuvanjubwa bwa Democratic Republic of Congo, oluvanyuma lw’rbibinja by’abayeekera obubyamuka mu mirembe nga bwekyakaanyizibwako.
Mu mwaka 2022, abakulembeze b’amawanga ga East Africa baasalawo okusindika amagye mu ggwanga lya DRC okuzza emirembe mu nteeko.
Okusinziira ku kitebe ky’omukago gwa East Africa , amawanga okuli Burundi, Kenya ,South Sudan ne Uganda gegaasindika amagye, era nti gakoze omulimu gwa ttendo.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omukago kiraze nti ebifo ebyakanunulwa kuliko,Karuba, Mushaki, Kiloriwe ,Kitchange ,Mweso, Kishishe,Bambo ,Bunagana,Tchengerero ,Kiwanja ne Kinyandoni.
Mu ngeri yeemu, president wa Kenya Samoei William Ruto alonze omuduumizi w’eggye ly’omukago omuggya Maj Gen Alphaxard Muthuri Kiugu, okudda mu bigere bya Maj Gen Jeff Nyagaah eyalekulidde ng’agamba nti obulamu bwe buli mu matigga.#