Munnabyabufuzi era munnamagye eyagannyuka Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya baziddwayo mu kkomera, oluvannyuma lw’omulamuzi wa kooti enkulu Douglas Singiza okutegeeza nti abadde tayinza kuwozesa muntu mulwadde nga Besigye bw’abadde.
Omulamuzi Singiza ategeezezza nti obutasukka ng’ennaku z’omwezi 25 February,2025, kooti ejjakuba esazeewo ekirina okukolebwa ku mbeera ya Besigye ne banne.
Besigye aleeteddwa mu kooti enkulu mu Kampala nga mulwadde, era ng’abadde tasobola kutuula bulungi mu ntebe.
Guno gwemulundi ogusoose Besigye ne Obed Kamulegeya okuleetebwa mu kooti enkulu, oluvannyuma lwa kooti ensukkulumu okuwa ensala nga 31 January,2025 eryasalawo nti kooti y’amagye terina buyinza kuwozesa bantu ba bulijjo.
Bannamateeka babwe Erias Lukwago ne Medard Sseggona baasaba kooti, nti abantu babwe baleetebwe batandike okuwozesebwa mu kooti za bulijjo, era nga bategeeza nti kyali kikyamu okuba nti baali bakyakuumibwa mu kkomera.
Wabula Johnson Natwera ategeezezza omulamuzi wa kooti enkulu nti tewali tteeka lyonna lyamenyeddwa olw’abantu bano okuba nga bakyakuumibwa mu kkomera, oluvannyuma lwa kooti ensukkulumu okusala nti kooti y’amagye terina buyinza kuwozesa bantu ba bulijjo.
Agambye nti emitendera gyonna egikwata ku misango egibavunaanibwa gikyagobereddwa bulungi, nga bwebakyetegereza n’ensonga endala ezirambikiddwa mu nsala ya kooti ensukkulumu.
Dr.Besigye ne Hajji Obed Kamulegeya baaggulwako emisango gy’okusangibwa n’emmundu mu ggwanga lya Kenya, mu November 2024.
Bavunaanibwa n’emisango gy’okutuuza enkiiko mu mawanga agenjawulo n’ekigenderwa eky’okusuula government ya Uganda.
Ebibiina bya bannakyewa n’abantu abenjawulo bazze bawanjagira bonna abakwatibwako okuyimbula Besigye agende afune obujanjabi obusaanidde.
Mu ngeri yeemu Besigye yazira okulya emmere mu kkomera, ng’awakanya okumukuumira mu kkomera mu ngeri emenya amateeka, saako okugaana abantu be okumukyalira.#
Bisakiddwa: Betty Zziwa