Ssabawaabi wa government Jane Frances Abodo aguddewo file ezisoba mu 45 ku bakungu ba government omuli ba minister , vice president, CAO nabalala abenyigira mukubulakanya amabati agaalina okugabirwa aba Karamoja.
Ekyama kino kibotoddwa ssabawaabi wa government Jane France Abodo bwabadde ayogerako ne banamawulire ku parliament.
Ategezezza nti bakyalina fayiro nyingi ezikwata ku bantu abenjawulo abaabulakanya amabaati zebatanaba kumaliriza kukolako, nti naye buli file gyebanamala nannyini waayo bwanaba yetagiisa okutwalibwa mu court wakutwalibwayo ng’amateeka bwegalagira.
Abodo era ategeezezza banamawulire nti okunoonyereza kwabwe kukyagenda mu maaso nti era abantu abalala bangi abali muvulugu ono, kwoteeka naabo abaafuna amabaati ago nga baali tebalina kugafuna bonna kababe abakozi ba government, baminister, ba Mp oba abantu ababulijjo bonna bagenda kubanoonyerezaako.
Abodo era ategeezezza nti nti fayiro zaabo bebamaze okunoonyerezaako nga balina ebyokunyonyola, baamaze dda okuzisiindika mu court, ng’essaawa yonna abantu abo bakulabikako mu court ewozesa abalyake esalewo ekyenkomeredde.
Ate abo abanasangibwa nga tewali bujjulizi bubalumiriza nti benyigira butereevu mukubulakanya amabaati g’eKalamoja bo fayiro zabwe zakuggalwawo.
Ba minister basatu bebakagombebwamu obwala nebavunaanibwa emisango egyekuusa ku kwekomya amabaati ga government.
Minister w’ensonga ze Kalamoja Mary Kitutu yayimbuddwa ku kakalu ka kooti, minister Omubeezi we Agnes Nandutu ali mu kaduukulu ka police alindiridde kutwalibwa mu kooti, saako minister omubeezi ow’okuteekerateekera eggwanga Amos Lugoloobi ali ku alimanda mu kkomera e Luzira.
Bisakiddwa: Ssebadduka Johnpaul