Obukulembeze obw’ekiseera obw’ekibiina ki Democratic Front butonzeewo akakiiko ak’ekiseera ek’ebyokulonda akagenda okukwasaganya okulonda kw’ekibiina kino ku mitendera gyonna
Akakiiko kano kakulemberwa Semyaalo Ismail Mulambuzi.
Ba memba kuliko Racheal Kagoye, Alice Nannyunja ,Ssemakula Huzairu, Nakayiwa Faridah ne Pascol Amuriat
Omukwagananya w’emirimu mu kibiina ki Democratic Front nga ye mukulembeze w’ekisinde kebyobufuzi ki Democratic Alliance Owek Mathias Mpuuga Nsamba yaalangiridde akakiiko Kano, ng’asinziira ku kitebbe kyekibiina kino e Namirembe mu Kampala.
Owek Mathias Mpuuga Nsamba awabudde akakiiko Kano kakole omulimu omuyonjo.
Ssentebe w’akakiiko Kano Ismail Mulambuzi alangiridde nti abagala oluvuganya ku bifo ebyenjawulo ku kaadi y’ekibiina kino ki Democratic Front baddembe okutandikirawo okutwaala okusaba eri akakiiko kano ku offiisi z’ekibiina e Namirembe oba offiisi z’ekibina ezisangibwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.#