Olukiiko oluddukanya liigi ya babinywera eya Uganda Premier League lulonze omuteebi wa club ya URA, Cromwell Rwothomio ng’omuzannyi eyasinze banne okucanga endiba omwezi oguwedde ogwa May 2022.
Rwothomio yateebedde URA goolo 5 mu mipiira 3, n’agiyamba okumalira mu kifo eky’okusatu.
Amezze banne okubadde Frank Kalanda owa Police FC eyateeba goolo 5 mu mipiira 5 ne Bobosi Byaruhanga owa Vipers eyateeba goolo 3 mu mipiira 4.
Mungeri yeemu Roberto Oliviera owa Vipers alondedwa nga omutendesi asinze banne.
Oliviera amezze Alex Isabirye owa BUL ne Mubaraka Wamboya owa Gaddafi FC.
Abawanguzi Cromwell Rwothomio ne Roberto Oliviera baweeredwa ensimbi akakadde kamu buli omu n’engule ezibasiima.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe