Omubaka wa Nyendo-Mukungwe era Commissioner wa Parliament Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ayanjudde ennongoosereza z’ayagala zikolebwe mu Ssemateeka w’eggwanga.
Mpuuga asinzidde ku Parliament mu lukungaana lwa bannamawulire n’alangirira ennongoosereza musanvu z’ayagala zikolweko ng’okulonda kwa bonna okwa 2026 tekunnatuuka.
Gyebuvuddeko Mpuuga yasaba sipiika wa parliament aweebwe ekyanya aleete ennoongosereza zino mu butongole zikubaganyizibweko ebirowoozo era ziyisibwe.
Ziizino;
1. Okuzza ekkomo ku bisanja by’omukulembeze w’eggwanga.
2. Avuganya ku ky’omukulembeze w’eggwanga okulangirira omumyuka we nga banoonya bombi akalulu.
3. Okutondawo Parliament ey’okubiri ng’erimu ababaka 39 nga bakiikirira ebitundu oba district 39 nnansangwa ng’ekulirwa omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga.
4. Okukendeeza ku muwendo gw’ababaka ba Parliament badde ku babaka 292.
5. Okukkiriza abantu ssekinnoomu okugenda mu kkooti okuwakanya ebivudde mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga.
6. Obululu bw’omukulembeze w’eggwanga bulangirirwenga ku district nga tebunnatuusibwa mu kifo ekyawamu ewabalirwa obululu.
7. Okukkiriza abasibe ne banna Uganda abali ebweru w’eggwanga okwetaba mu kulonda.#