Obwakabaka bwa Buganda busabye abantu okuwagira ebitongole n’abantu bonna abawagira enteekateeka z’Obwakabaka zonna,kuba bakola kinene mu kubuyambako okutuukiriza ebigendererwa byabwo eb’okubuzza ku ntikko.
Centenary Bank bebamu ku bavujjirizi b’empaka z’Omupiira gw’Amasaza ga Buganda, Kaliisoliiso dinner, n’enteekateeka endala.
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kawaase Kigongo agamba nti obwakabaka okutuukiriza ebirubirirwa byebulina, bulina okubeera ne bannamikago nga Centenary banka, kwekusaba abantu obutaava ku banka enno nabonna abawagira program z’Obwakabaka.
Owek. Kawaase abyogeredde ku Hotel Africana Centenary banka bwebadde esiibulula abasiiramu leero nga 03 March,2025.
Supreme Mufti wa Uganda Sheik Shaban Muhammed Galabuzi agambye nti Centenary banka tekoma mukuteereka ssente wabula ezze yetaaba mu bintu bingi ebikyusiza obulamu bw’abantu.
Senkulu wa Centenary banka Omukungu Fabian Kassi agambye nti enteekateeka zino bagenda maaso nga bagikola okwetoolola ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo, nasaba abantu okwongera okubesiga ne ssente zabwe.
Okusiibulukuka kuno kwetabiddwako ab’ebitiibwa okuva mu Bwakabaka, abakungu mu government ya wakati nabantu abalala bangi.#