CBS ky’ekitongole kya Buganda ekinywedde akendo mu bitongole bya Buganda byonna mu buweereza obw’omwaka guno 2024.
Katikkiro Charles Peter Mayiga y’alangiridde ku buwanguzi buno, ku mukolo gw’ennyimba za Chrismas ezibadde mu Bulange e Mengo.
CBS radio efunye obubonero obusinze obungi, nga bwesigamizibwa ku lupimo olwateekebwawo Obwakabaka bwa Buganda eri ebitongole byabwo.
Mulimu okugoberera ebigendererwa ebyagitandisaawo, Enkwata y’ensimbi ensasula y’omusolo, n’Obwerufu n’ebirala.
Omwana w’engoma Nnaalinnya Joan Claire Tebattagwabwe Nassolo y’akwasizza Ssenkulu wa CBS Omukungu Michael Kawooya Mwebe Engabo y’obuwanguzi. #