Kyadaaki government ya North Korea ekkiriza ennyonyi okuddamu okufuluma North Korea okugendako munsi endala, okuva ensi lwe yazindibwa ekirwadde kya Covid-19. Ennyonyi ya North Korea eyitibwa Air Koryo JS151, esitudde...
President Yoweri Kaguta Museveni agambye nti wakukolera wamu n'akakiiko kabakulembeze akassibwawo okwogerezeganya ne president wa Russia Vladmir Putin ne munne owa Ukraine Volodymyr Zelensky, bayimirize okulwanagana kwebalimu okututte obulamu bw'abantu...
Omuduumizi w'amagye g'amawanga ga Africa agegattira mu mukago gwa African Union Transition Mission in Somalia (ATMIS) Left.Gen.Sam Okiding akyaliddeko ku basirikale abaalumiziddwa mu bulumbaganyi obwabakoleddwako abakambwe ba Alshabab, mu nkambi...
Emikolo gy'amatikkira ga King Charles III gitandise mu Westminister Abby mu kibuga London ekya Bungereza. King Charles III ye King wa Bungereza owa 40. Agenda kutuuzibwa ne mukyala we Camilla...
Akeetereekerero kaamaanyi mu Bungereza wonna n’amawanga agali mu luse olumu nayo (Bungereza) nga balindirira olunaku olwa nga 6 May 2023, King Charles III lwanaatuuzibwa ku "Nnamulondo" ya Bungereza mu butongole....
Omuyizi abadde mu mwaka ogw'okusatu atiddwa mu kwekalakaasa okumaamidde ekibuga kya Kenya Nairobi, ng'abantu bekalakaasa olw'ebbeeyi y'ebintu okulinnya, nga kigambibwa nti bakumiddwamu omuliro bannabyabufuzi ab'ekibiina kya Azimio. Omuyizi abadde asomera...