Kyadaaki government ya North Korea ekkiriza ennyonyi okuddamu okufuluma North Korea okugendako munsi endala, okuva ensi lwe yazindibwa ekirwadde kya Covid-19.
Ennyonyi ya North Korea eyitibwa Air Koryo JS151, esitudde okuva mu kibuga Pyongyang okwolekera ekibuga Beijing ekya China, wabula omuwendo gwábasaabaze ababaddemu tegumanyiddwa.
Government ya North Korea etegeezezza nti ennyonyi eno yagenzeeyo kunona bannansi baayo abaakonkomalira e China okuva ekirwadde kya Covid-19 lwe kyazinda ensi yonna.
Okuva ku ntandikwa ya 2020 ekirwadde kya Covid 19 lwekyabalukawo, North Korea yaggala ensalo zaayo, ebadde tekkiriza bantu bayingira wadde okuguluma eggwanga eryo.#