Emikolo gy’amatikkira ga King Charles III gitandise mu Westminister Abby mu kibuga London ekya Bungereza.
King Charles III ye King wa Bungereza owa 40.
Agenda kutuuzibwa ne mukyala we Camilla the Queen Consort.
Bagenda kutambulira mu ggaali ewundiddwa mu Diamond, The Diamond Jubilee State Coach, nga bava mu lubiri lwe Buckingham okutuuka mu Westminister Abby.
Eggaali King Charles III mwagenda okutambulira oluvannyuma lw’amatikkira ge yo ewundiddwa mu zzaabu.
Eggaali eno emanyiddwa nga Gold State couch yatandika okutambulirwamu abalangira n’abambejja ba Bungereza mu 1762.
Abakulembeze b’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza bangi betabye ku mikolo.
Basoose kusisinkana King Charles mu Marlborough House, okumwaniriza mu buweereza nga King wa Bungereza.
King Charles adda mu bigere bya nnyina Queen Elizabeth II, eyakulembera engoma ya Bungereza okumala emyaka 70.
Abantu bakungaanidde mu bibaangirizi omuteereddwa entiimbe gagadde mu Bungereza okugoberera ebigenda mu maaso.
Omukolo guno ogw’amatikkira ga King Charles ogw’ebyafaayo gusuubirwa okuwemmenta obukadde bwa pound 100.#