Akeetereekerero kaamaanyi mu Bungereza wonna n’amawanga agali mu luse olumu nayo (Bungereza) nga balindirira olunaku olwa nga 6 May 2023, King Charles III lwanaatuuzibwa ku “Nnamulondo” ya Bungereza mu butongole.
King Charles agenda kutuuzibwa atandike emirimu gy’obukulembeze obw’ennono, ng’adda mu bigere bya nnyina Nnaabakyala Elizabeth Mary II eyafa omwaka oguwedde.
Nnaabakyala Elizabeth yafa nga 8 September 2022 ku myaka 96, yali akulembedde Bungereza emyaka 70 be ddu!
Abateekateeka amatikkirwa ga King Charles III bagamba nti newankubadde omukolo gugenda kubeera mawuuno munda n’ebweru wa Bungereza, abantu 2000 bokka abalondemu bbebajja okugwetabako obutereevu ng’abasigadde obukadde n’obukadde baakugwota buliro ku mikutu gy’amawulire okwetoloola ensi.
King ne kabiitewe Camilla bakutuuzibwa mu Kkanisa Lutikko e Westminster Abbey, omuzze mukolerwa emikolo egy’ennono z’abakulembeze ba Bungereza okuviira ddala mu 1066.
Ebijoowoowe n’ebijjorobero byonna ebikoleddwa mu zaabu okuli ne “Enguugu” enkofiira y’okumutwe n’ebirala byonna byawedde dda, era olunaku mulindwa lwelwokka olutannatuuka.
Mu balondemu abaneetaba obutereevu ku mukolo guno, kuliko abaana b’e Ngoma abalangira n’Abambejja ba Bungereza, Ssaabaminisita n’abaaliko ba Ssaabaminisita ba Bungereza, ababaka mu nkiiko enkulu eza Bungereza, abakulembeze ab’ennono okuva mu bukulembeze obulala okwetoloola ensi, abakulembeze b’eddiini n’enzikiriza enzenjawulo n’abanaasanyusa abagenyi batono ddala.
Kitegeerekese nti olwokuba omukolo guno gugenda kubeerawo ku lunaku Lwamukaaga olw’okuwummula, abakulu balangiridde nti ku Bbalaza nga 8 May,2023 nalwo lwakuwummula mu Bungereza yonna, okusobozesa bannansi okumalako obulungi ebikujjuko by’amatikkirwa ga King Charles III.
Nnaabakyala Elizabeth II bweyali atuuzibwa mu 1953 omukolo gwe gwetabwako abantu abaasoba mu 8000 abaaguliko obutereevu.
So nga obukadde n’obukaddde bw’abantu bwebwagwota obuliro ku ntimbe za TV ezaaganzikibwa mu bibangirizi by’ebibuga ebyenjawulo n’abatono abaalina TV mu maka gabwe.
Bikunganyiziddwa: Achileo Kamulegeya Kiwanuka