Bannauganda 300 abaasazeewo okwabulira Sudan okudda ku butaka bakyasobeddwa, olw’entambula eyeyongedde okukaluba mu ggwanga eryo.
Waliwo n’amawanga amalala agakyalemeddwa okuggyayo abantu baago, olw’amagye agalwanagana mu Sudan okuyimiriza ennyonyi zonna obutaddamu kusaalimbira mu bwengula bwa Sudan.
Omubaka wa Uganda e Sudan Dr. Shiekh Rashid Yahaya Ssemuddu agambye nti bakyawuliziganya ne bannauganda 300 abaagala okudda ku butaka, nga bwebasalira wamu amagezi ku kiyinza okukolebwa okufuna entambula.
Ssemuddu agambye nti kawefube gwebaliko wewokulaba nga bafuna bus ezisobola okutuusa abantu ku nsalo ye PortSudan gyebanaalinnyira ennyonyi eyasiddwawo government ya Uganda, wabula obukuumi bwabwe bukyali buzibu mu lugendo olubatusaayo.
Annyonyodde nti ebitebe by’amawanga ebiwerako mu Sudan byonna bikyasobeddwa, naawa eky’okulabirako ekya Turkey kyagambye nti kisazeewo kitambuze abantu baayo mu bus olugendo lwa kilometre nga 1000 bayingire Ethiopia, gyebanaava okweyongera e Turkey wabula nakyo kikyali kizibu.
Amawanga amalala okuli Germany, USA, Italy n’amalala galiko abantu baago begaggyeyo.
Minister wa Uganda akola ku nsonga z’amawanga amalala Okello Oryemu agambye nti bawandiikidde balirwana ba Kenya ne Tanzania okusalira awamu amagezi okuggyayo abantu babwe.
Okello Oryemu annyonyodde nti waliwo ne bannauganda abaagaanye okudda e Uganda, nga batya okufiirwa emirimu gyabwe.
#