Omuduumizi w’amagye g’amawanga ga Africa agegattira mu mukago gwa African Union Transition Mission in Somalia (ATMIS) Left.Gen.Sam Okiding akyaliddeko ku basirikale abaalumiziddwa mu bulumbaganyi obwabakoleddwako abakambwe ba Alshabab, mu nkambi ye Buulo Mareer forward operating base mu kitundu kye Lower Shabelle mu Somalia abamu batandise okusuuka.
Mu ngeri yeemu, Akulira amagye mu Somalia Gen Odowaa Yusuf Rageh n’akulira aga UPDF agokuttaka Lt Gen Kayanja Muhanga bakkiriziganyizza okusaawo kafiyu, teri mmotoka kutambula kiro ku nguudo ezimu e Somalia, okutangira aba Alshabab okuddamu okukozesa ebidduka ekiro okulumba amagye ga ATMIS.
Enguudo ezigatta ku luguudo mwasa njala oluva e Afgoye okudda e Barawe mu Shabelle region zezigenda okukosebwa mu nteekateeka eno.
Bino bitukiddwako mu ensisinako banamagye bwebabadde bekeneenya ekyavuddeko Al Shabaab okulumba enkambi ya UPDF nebagitusaako obulabe.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumizibwa egye ly’omukago ATMIS, obulumbaganyi buno bwakolebwa ng’obudde busaasaana, aba Alshabaab bakozesezza mmotoka mwebaali bateze bbomu n nebayingirira enkambi y’amagye g’omukago e Buulo Mareer mu kitundu kye Lower Shabelle
Banamagye kati bakkiriziganyizza n’abatuuze mu bitundu ebyo nti engeri yokka eyokuyimiriza aba Al Shabab okukola obulabe ku bantu ne banamagye abakuuma emirembe e Somalia, kwekusawo kafiyu mu nguddo ezzo ezigambibwa nti babadde bazikozesa okutambuza eby’okulwanyisa.
Omuduumizi w’amagye ga UPDF agookuttaka Lt Gen Kayanja Muhanga, yadduse misinde okugenda e Somalia okwekenenya embeera n’okumanya abasirikale ba UPDF abaafunira obulabe mu bulumbaganyi obwakolebwa ku nkambi yabwe.
N’okutuusa kati omuwendo gw’abasirikale abaafunye obuvune n’abagambibwa okuba nti baafudde tegunamanyika.
Wabula kitegeerekese nti abakulu abaagenze okwekennenya embeera, basazeewo nti ebikunyanyizibwa byonna mukunoonyereza kwebaliko byakuwebwa president wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni asaleewo ekiddako.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru