Omwezi gwa April 2025 gunokoddwayo nga gwegukyasiinze okubeera n'ebbeeyi y'ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo okwekanama, bw'ogeraageranya n'emyezi esatu egyasooka egya 2025. Bino biri mu alipoota y'ekitongole kyémiwendo ekya UBOS...
Government okuyita mu ministry y'ekikula ky'abantu, etadde omukono ku ndagaano ne Makerere University Business school e Nakawa, okutandikawo enteekateeka y'okubangula abakyala mu by'okukwatamu n'enkuza ya business. Enteekatreka eno eyise mu...
Omuliro ogutannamanyika kweguvudde gusaanyizzaawo ebibanda by'embaawo ebiwerako n'ebyuuma ebizisala mu Ndeeba mu kibuga Kampala. Omuliro guno ogukutte Embaawo mu Kasumba Zone gulabiddwa ku ssaawa Ttaano n'ekitundu mu Kiro ekikeesezza olwa...
Ekitongole ekiwooza kyomusolo ki URA kirangiridde nti kirina esuubi okukuηaanya omusolo ogusukka mwogwo ogwakigerekerwa okukuηaanya mu mwaka gw'ebyensimbi guno 2024/2025 okusinziira ku bubonero obuliwo. Mu mwaka gw'ebyensimbi guno 2024/2025, government...
Olutalo lubindabinda wakati wa Amerika ne China mu byenfuna; China eddizza Amerika Omuliro, bw’erangiridde nti nayo eyongezza omusolo ku byamaguzi ebiva mu Amerika, okutuuka ku bitundu 84%. Amerika yeyasoose...
President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni alangiridde olutalo ku bantu abakukusa ssente, naabo abazivujirira ebikolwa by`obutujju mu ggwanga agambye nti agenda kufafagana nabo. President Museveni agamba nti tewali ggwanga...
Kampuni y'amasanyalaze eya Umeme mu butongole ewaddeyo obuvunaanyibwa bw'okuddukanya eby'amasannyalaze mu Uganda, bukwasiddwa ekitongole kya government ki Uganda Electricity Distribution Company Ltd. Ssentebe w'olukiiko olufuzi olwa Umeme Patrick Bitature agambye...
Government ya Uganda nate ezeeyo mu parliament egisabye ekkirize ebbibiro ly'amasannyalaze erya Bujagaali hydro power project lisoonyiyibwe omusolo okumala emyaka emirala 5. Ekisonyiwo kino kyakukoma mu mwaka gwa June 2032...