Police ekutte omuntu omu mukunoonyereza kweriiko okw'omuliro ogwakutte amaka geyaliko munnamagye Martin Ikwaru, ogwafiiridde omwana owomwaka ogumu gwokka. Enjega eno yagudde Nabweru mu district ye Wakiso. Omukwatte ye Deborah Adu,...
Kooti ya Buganda road esindise ku alimanda Omuchina ayitibwa Dai Jie ku misango gy'okutta muchina munne. Omulamuzi Ronald Kayizzi yamusindise ku alimanda, nga tamusomedde misango gimuvunaanibwa olw'okuba nti abadde tawulira...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n'ayogerako eri Obuganda, butereevu ng'asinziira mu lubiri lwe, ku mikolo egitegekeddwa mu lutikko e Namirembe, okwebaza Ktaond olw'obulamu bwe n'okujaguza okuweza emyaka 31...
Abakulu ku Kkanisa lutikko Ey’Omutukuvu Paul e Namirembe mu butongole bafulumizza enteeteeka eyenkomeredde enaagobererwa mu Kusabira Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, n’okuzjaguza emyaka 31 ng'atudde ku Nnamulondo alamula Obuganda....
Police ebakanye ne kaweefube w'okunoonyereza ku bantu bonna ababadde bakungaanira mu maka ga Tabula Lujja agasangibwa mu town council ye Mpigi, awasangiddwa obuwanga bw'abafu 17. Tabula Lujja akyaliira ku nsiko,...
Police y'e Kaliisizo mu district ye Kyotera etandise okunoonyereza ku babbi abaamenye eddwaliro lye Kaliisizo mu district ye Kyotera, nebabba computer zonna ezibadde ziterekebwamu ebikwata ku balwadde abajanjabirwa awo....