Police ebakanye ne kaweefube w’okunoonyereza ku bantu bonna ababadde bakungaanira mu maka ga Tabula Lujja agasangibwa mu town council ye Mpigi, awasangiddwa obuwanga bw’abafu 17.
Tabula Lujja akyaliira ku nsiko, era awenjezebwa ku misango gy’okukulemberamu okutemula eyali omutaka w’akasolya k’Endiga Lwomwa Eng.Daniel Bbosa ku ntandikwa y’omwaka 2024.
Police eriko abantu abalala beyakwata abali mu kkomera bawerennemba n’emisango gy’okutta omutaka.
Omubaka wa president owa district ye Mpigi Hassan Kasibante agambye nti nga bali wamu ne police bakedde kwaza maka ga Tabula Lujja, gyebagwiiridde ku keesi 4 nga musibiddwamu obuwanga b’abafu 17, n’ebintu ebirala bingi.
Omowgezi wa police e Mpigi Majid Karim agambye nti wadde Tabula Lujja akyanoonyezebwa, nti naye balina n’okunoonya abantu abalala ababadde bakungaanira mu kifo ekyo, okukolerawo emikolo egyenjawulo.