Police y’e Kaliisizo mu district ye Kyotera etandise okunoonyereza ku babbi abaamenye eddwaliro lye Kaliisizo mu district ye Kyotera, nebabba computer zonna ezibadde ziterekebwamu ebikwata ku balwadde abajanjabirwa awo.
Police ekutte abantu 4, okuli omukuumi w’eddwaliro ayitibwa Mulindwa Mathias, n’abakozi abalala 3 abakola mu Laboratory, ewabadde wakuumibwa computer ezo.

Akulira eby’emirimu ku ddwaliro ly’e Kaliisizo Bantubalamu Richard Bireego agambye nti computer zino zaabaweebwa government, era nti abantu abaazibbye balina okuba nga babadde bamanyi bulungi ebizikwataako.

Agambye nti eddwaliro lino lyonna liriko camera eziwera mu bifo ebisinga obungi, wabula nti abanyazi baayise mu mulyango omutono ennyo ewatali camera, era bamenye omunyolo gw’oluggi nebayingira.
Akola ku gw’okunoonyereza ku musango guno Ankunda Hasfah agambye nti abakwate bamaze okukola sitatimenti, era nebayiingizibwa mu kadduukulu, ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi