Eklezia ya St. Jude Catholic parish Wakiso etegese emisinde mubuna byalo egigendereddwamu okusonda ensimbi ez’okuzimba Ekleziya empya nga omulimu guno gugenda kutwala ebbanga lya myaka essatu .
Emisinde gino gigenda kubaawo nga 03 August,2024 ku klezia ya St. Jude Wakiso, ng’obujoozi obuddumirwamu bugulibwa shs emitwalo 20,000/= ne 50,000/= ku Centenary bank Wakiso branch.
Bwana mukulu wa st Jude Catholic parish Rev. Fr. Ronnie Mubiru asiinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ku st Jude e Wakiso n’akubiriza abakristu okujjumbira emisinde gino egyigenda okusimbulwa ssabaminister w’eggwanga Rt Hon Robinnah Nabbanja Musaafiiri.
Rev Peter Claver Tamale amyuka Bwana mukulu w’ekigo kino era nga yakulira obuweereza bw’abavubuka asabye abavubuka okukozesa omukisa ogubawerddwa nabo okugatta ettofaali mu kuzimba ennyumba yakatonda, nga bakadde babwe bwebaakola .
John Mary Vian Kyakonye Bugembe akulembedde enteekateeka z’emisinde gino egyikulembeddwamu abavubuka asabye bannauganda abatafunanga ndaga muntu okukoseza omukisa guno okujja okuzifuna, ng’abekitongole kya NIRA wamu nabyebulamu bagenda kubeerawo okubanguyizaako ku ntegeka eno.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo