Police ekutte omuntu omu mukunoonyereza kweriiko okw’omuliro ogwakutte amaka geyaliko munnamagye Martin Ikwaru, ogwafiiridde omwana owomwaka ogumu gwokka.
Enjega eno yagudde Nabweru mu district ye Wakiso.
Omukwatte ye Deborah Adu, police etegezeza nti alabika alina kyamanyi ku muliro guno era wakugiyambako mukunoonyereza kweriko.
Omuliro guno gwafiiriddemu omwana Onam Emmanuel ow’omwaka gumu ne Anorwoth Elizabeth myaka 3 eyasigadde n’ebisago eby’amaanyi.
Taata w’abaan Martin Ikuru agamba nti omuliro guno wegwatandikidde abakulu baabadde bweru, ng’abaana bali mu nnyumba bebase, baalabidde awo ng’omuliro gutuntumuka mu nnyumba, kwekukuba enduulu eyasoombodde abantu abaabayambyeko okuguzikiza, naye omwana omu n’afa ate omulala ali mu ddwaliro e Kiruddu ajjanjabirwa.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti omukwate wakubayambako okuzuulira ddala ekyavuddeko omuliro.