Omukungu mu ministry y’ebyenjigiriza avunaanyizibwa ku kulambula amasomero mu ggombolola y’e Lubaga Florence Kyosabiire awabudde abaddukanya amasomero okufuba okuyigiriza abayizi babwe akabi akali mu bulyi bw’enguzi n’obulyake.
Kyosabiire abadde ku ssomero lya Good Times Infant School e Kawaala ku mukolo abakulembeze b’abayizi kwebakyusirizza obukulembeze, n’agamba nti emize ng’obulyake n’obulyi bw’enguzi bwegitaziyizibwa mu baana nga bakyali bato kizibu nnyo okugilwanyisa nga bakuze.
Atenderezza abaddukanya essomero lino erikulirwa omumyuka asooka owa Kaggo, Omwami Ronald Bakulumpagi olw’okuteekateeka okulonda kw’abayizi omutali kugulirira bannaabwe.
Abeebazizza olw’okutendeka obukulembeze mu miti emito omunaava abakulembeze ab’enkya abanaabaamu ensa.
Mu ngeri yeemu asabye abazadde okufaayo bulijjo okwogera n’okuwagira abaana baabwe okwenyigira mu bifo by’obukulembeze kibayambe okukula n’obuvunaanyizibwa.
Omukolo guno gutandise n’okusaba okukulembeddwamu Omusumba w’Obusumba bw’e Kawaala Rev Dr. Enock Kimmanje akalaatidde abakulembeze b’abayizi okusaba ennyo Katonda okubawa amagezi okukulembera obulungi bannaabwe.
Omukulu w’essomero lino Omwami Ronald Bakulumpagi agambye nti bakulembeza nnyo amazima n’obwerufu mu bayizi naddala mu kuteekateeka okulonda kw’abakulembeze b’abayizi kibayambe okukulembera banaabwe mu ngeri entuufu.
Akuutidde abakulembeze okukola n’amaanyi okuyamba bannaabwe okugonjoola ebibasoomooza ku mutendera gwabwe.
Olukiiko lw’abayizi olukulembeze luliko abayizi abakunuukiriza mu 50 nga lukulemberwa Namubiru Melisa nga Head Prefect, Sserunkuuma Elisha nga Head Boy ne Kainembabazi Jaily.